Amos 2

1Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Olw’ebyonoono bya Mowaabu ebisatu
weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yayokya amagumba ga kabaka wa Edomu
ne gafuuka evvu.
2Ndiweereza omuliro ku Mowaabu
era gulyokya ebigo bya Keriyoosi.
Abantu ba Mowaabu balifiira
wakati mu kusasamala okungi omuliba okuleekaana n’okufuuwa amakondeere.
3 aNdizikiriza omukulembeze wa Mowaabu
n’abakungu baamu bonna, ndibatta,”
bw’ayogera Mukama.
4 bBw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Olw’ebyonoono bya Yuda ebisatu
weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga banyoomye amateeka ga Mukama,
ne batakuuma biragiro bye nabawa
ne bagondera bakatonda ab’obulimba
bajjajjaabwe be baagobereranga.
5 cNdiweereza omuliro ku Yuda
ne njokya ebigo bya Yerusaalemi.”

6 dBw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Olw’ebyonoono bya Isirayiri ebisatu
weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Batunda obutuukirivu bafune ffeeza,
ne batunda n’abaavu olw’omugogo gw’engatto.
7 eBalinnyiririra emitwe gy’abaavu
mu nfuufu,
n’abajoogebwa ne batalamulwa mu bwenkanya.
Omwana ne kitaawe bayingira eri omuwala omu
ne boonoona erinnya lyange.
8 fBagalamira okumpi ne buli kyoto
ku ngoye ezaweebwayo ng’obweyamo.
Mu nnyumba ya bakatonda baabwe
mwe banywera omwenge oguleetebwa abatanziddwa.

9 g“Nazikiriza Abamoli ku lwabwe
newaakubadde nga baali bawanvu ng’emivule
era nga ba maanyi ng’emyera.
Nazikiriza ebibala ebyali waggulu
okutuuka ku mirandira egyali wansi.
10 hNakuggya mu nsi y’e Misiri,
ne nkukulemberera emyaka amakumi ana mu ddungu,
weetwalire ensi y’Abamoli.

11 i“Nayimusa abamu ku batabani bammwe okubeera bannabbi,
ne ku balenzi bammwe okuba Abawonge ba Mukama.
Si bwe kiri bwe kityo abantu ba Isirayiri?”
bw’ayogera Mukama.
12 j“Naye mmwe ne mudda mu kuwa Abawonge ba Mukama omwenge okunywa,
ne muwa bannabbi amateeka nga mubagamba nti temuwa byabunnabbi.

13“Laba, ndibasesebbula
ng’eggaali eryettisse ebinywa by’emmere ey’empeke bwe lisesebbula ekiri mu kkubo lyalyo.
14 kAbanguwa tebaliwona,
n’ab’amaanyi tebalikuŋŋaanya maanyi gaabwe
era n’omuzira nnamige talisobola kuwonya bulamu bwe.
15 lOmukubi w’obusaale omukugu taliyimirira kunywera,
n’omuserikale ow’ebigere nnakinku talisobola kuwenyuka.
Abo abasajja abazira abeebagazi b’embalaasi tebalisobola kuwonya bulamu bwabwe.
16 mKu lunaku olwo abalwanyi abazira nnamige
balidduka bukunya!”
bw’atyo bw’ayogera Mukama.
Copyright information for LugEEEE